OKUVUGANYA KU BWA SIPIIKA: Babiri beebesowoddeyo mu NUP
Nga beetegekera olutuula olwawamu n’ebibiina ebivuganya gavumenti ebirala, ab’ekibiina kya NUP bagamba baakafuna abantu babiri bokka abegwanyiza ekifo kya sipiika wa palamenti n’omumyukawe ssinga nakyo kifuuka ekikalu. Wadde nga taboogedde manya gabwe , omwogezi w’ekibiina kino Joel ssenyonyi atutegezezza nga ekibiina bwekitanaba kuwanda ddusu ku muntu yenna nga bino byakutunulwamu enkya mu kabondo k’ekibiina nga tebanagenda mu lutuula lw’abavuganya olwawamu.