OKUTULUGUNYA BANNAYUGANDA: Ssaabasumba asabye ab’ebyokwerinda beddeko
Ssabasumba wa Kampala Paul Ssemogerere avumiridde ebikolwa by'okutulugunya abantu ebigenda mumaaso mu ggwanga n'asaba ab'ebyokwerinda okweddako. Ssabasumba agamba ebikolwa bino kikontana n'ebigambo bya pulezidenti ku ddembe ly'obuntu. Ono abadde akulembeddemu mmisa ey'okukuza olunaku lwabakkiriza era nga ye mmisa ye esoose okuva lwe yatuuzibwa bukya atuuzibwa.