OKULWANYISA ENJALA E KARAMOJA: Gavumenti eweerezza abaayo ensigo ezidda amangu
Gavumenti nga eyita mu minisitule y'ebyobulimi etegeezeza nga bwetandise okuwa ensigo eri famile z'abantu mu bitundu bye Karamoja nga omu ku kaweefube w'okulwanyisa enjala esse abantu mu kitundu kino. Kino wekigidde nga gavumenti ezze ewa abantu be Karamoja emmere okusobola okufuna eky’okulya olw’ekyeya ekiri mu bitundu bye Karamoja.