OKULWANYISA ENGUZI MU MALWALIRO: Dr Atwine asabye abakulembeze okubakwatizaako
Atekeratekera Minisitule y'ebyobulamu Dr. Diana Atwine asabye obukulembeze bw'ebitundu wamu n'abebyokwerinda okukwasiza ewamu nabo babayambeko okulwanyisa ekirwadde ky'enguzi mu malwaliro gabwe. Atwiine agamba enguzi eremesezza abasawo mu malwaliro gabwe okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe ekivirako emirimu okuzingama n'okuvumaganya Gavumenti. Ono okwogera bino abadde ku ddwaliro ly'e Kiruddu mu lukungaana lw'abakulembera eddwaliro lino n'obukulembeze bw'ekitundu ekyo.