OKULWANAGANA MU BAYIZI: Aba S4 ne S.6 ku mbarara high basindikiddwa eka
Abayizi ba siniya four ne siniya six aba Mbarara high school basindikiddwa eka nga balangibwa kusiwuuka mpisa . Essomero liri mu kunoonyereza ekyatanudde abayizi bano okulwanagana, ekyalese abayizi 11 nga balumiziddwa era nebaweebwa n’ebitanda mu ddwaliro lye Ruharo. Kigambibwa nti bino byonna byavudde ku amyuka akulira abayizi eyabonerezza omu ku bayizi ba siniya four nga amulanga kujolonga omuyizi wa siniya esooka, gweyalagidde okumukimira amazzi ag'okunaaba ekimanyiddwa ennyo nga bullying. Ezekeil Emitu, nga yakulira Poliisi mu bitundu bino ategeezeza nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso ku nsonga eno.