OKULONDA KU KITEBE KYA KENYA: Bannakenya abamu kubasubye, basigadde bakukkuluma
Bannansi b'eggwanga lya Kenya abawangaalira wano mu Uganda bangi bbo basubiddwa okulonda, oluvannyuma lw'okusanga ng'amannya gaabwe tegali ku nkalala z'abalonzi. Okulonda kuno kubadde ku kitebe kya Kenya e Kololo mu kibuga Kampala era bano bakukkulumidde akakiiko k’ebyokulonda e Kenya obutabasomesa kimala ku ngeri gyebaali balina okwetaba mu kulonda kuno nga basinziira mu mawanga gyebabeera.