OKUJJUKIRA ABAKOLEREDDE EGGWANGA: BMK ne Ssaabasumba Lwanga baakubbulwanu enguudo
Olukiiko lwaba kkansala ba KCCA luyisizza ekiteeso okubbula oluguudo Wampeewo mu linnya ly’omugenzi Buraimu Muwanga Kibirige saako oluguudo Nakibinge e Kasubi Namungoona okubulwamu erinnya lya Ssaabasumba w'aba orthodox Metropolitan Yonanh Lwanga olwokusiima bwakoledde eggwanga. Olukiiko era luwadde obuyinza obukiiko okuli akateekerateekera ekibuga enaku musanvu okunoonyereza ku bizimbe byona ebizze bizimbibwa mu kiseera kino ekya Covid-19 nga nebimu bitandise okuggwa