OKUGEMA COVID-19: Abakadde bagenda kubasanga ewaabwe
Gavumenti erowooza ku ky'okutandika okusanga abakadde ewaabwe, ebagemere eyo ssenyiga omukambwe owa COVID-19 kubanga tebasobola kutambula kutuuka mu bifo awagemerwa. Abakadde bebamu ku bantu ab'enkizo abateekeddwa okugemebwa wabula kizuuliddwa nti enteekateeka eno tebajijjumbidde. Bino minisita w'ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng, yabyogedde bwabadde ategeeza eggwanga webatuuse mukulwanyisa COVID-19.