OKUDOBONKANYA OBUWEEREZA: Omuwabi wa gavumenti akwatiddwa e Kabale ku by’enguzi
Wofiisi ya Kalisoliiso e Kabale ekutte omuwaabi wa Gavumenti Edwin Mbabazi ki bigambibwa nti yasaba enguzi ya mitwalo kkumi n’etaano n’ekitundu era nemuweebwa. Ono gweyazisaba yamuteegeeza nti bwazimuwa nga ensonga z'omusango ziwedde. Sam Agaba, nga yemukungu wa Kalisooliso mu kitundu kino atubuulide nti Mbabazi yasaba emitwalo Ataano okuva ku muntu omu aleme kuvunaanibwa olw’omusango gw'okusaalimbira ku ttaka ly'omuntu era akwatiddwa nga aweebwako ekitundu. Ono agenda kusimbibwa mu kkooti ewozesa abalyake mu Kampala avunaanibwe.