OKUDDAABIRIZA EBBIBIRO LY’E ISIMBA: Bayinginiya baagala gavumenti epangise kontulakita omulala
Ekibiina ekitaba ba yinginiya mu Uganda kisabye gavumenti epangise kampuni endala eyabakugu yegatte ku kampuni yaba China okuddaabiriza ebbibiro lye Isimba. Mulukungana lwabanamawulire lwebatuuzizza olwaleero, sentebe wabwe Eng Andrew Muhwezi agamba kampuni okugyongera obudde tekimala kumalawo bizibu ebiri ku bbibiro lya Isimba.