OKUBANGULA ABAKULEMBEZE: NUP egguddewo ettendekero ly’eby’obukulembeze
Ekibiina kya National Unity kigguddewo ettendekero ly'ebyobukulembeze okubangula bannakibiina ne bannayuganda okutwaliza awamu mu by'obufuzi n'ensonga endala. Robert Kyagulanyi Ssentamu, pulezidenti wa NUP agamba nti ettendekero lino lyakuyamba okuzimba abakulembeze abenkya okuba n'ensa, amazima n'obuntu bulamu ssaako obwesimbu.