OKUBA NE BBOMU ENKOLERERE: Kkooti y’amagye eriko b’esomedde emisango
Waliwo abantu 32 kkooti y'amagye beesindise ku alimanda e Kitalya oluvannyuma lw'okubasomera emisango egyekuusa ku kusangibwa ne bbomu enkolerere oba ebibwatuka. Bano baakwatibwa wakati wa November w'omwaka oguwedde n'e May omwaka guno mu bitundu okuli Jinja, Mbale, Kireka, Nakulabye, Kawempe, Nateetee ne Kampala. Emisango bano bagyegaanye.