ODINGA AGENZE MU KKOOTI : Atutte loole y’ebiwandiiko okuwakanya obuwanguzi bwa Ruto
Raila Odinga n’omukago gwe Azimio la Umoja bataddeyo okwemulugunya kwaabwe nga bawakanya ebyava mu kulonda kw’omukulembeze w’eggwanga erya kenya, Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Wafula Chebukati e Kenya mweyalangirira William Ruto nga awangudde akalulu ako. Odinga agamba nti okulonda kwaali mu obuvuyo era nga banna Kenya tebaweebwa mukisa kwesalirawo gwe baagala, bano bagamba nti balina obujjuliza obulaga emivuyo egyaali mu kulonda kuno.