OBWENKANYA ERI BAKIGGALA: Baagala babateerewo abataputa b’enkalakkalira mu kkooti
Abantu abaliko Obulemu naddala obw'obutawulira baagala gavumenti ekole ku ky'okussaawo abataputa olulumi olwobubonero mu kkooti nga bankalakkalira okusobola okubayambako okufuna obwenkanya. Mu kiseera kino ekitongole ekiramuzi kyeyambisa bitongole ebyenjawulo okufuna abataputa singa wabaawo omuntu aliko obulemu buno aleetebwe mu kkooti. Wabula omwogezi w'essiga eddamuzi Jameson Karemani agamba nti bali mu nteekateeka y'okulaba nga bafuna abataputa abenkalakkalira mu kkooti ezenjawulo.