OBUSUUBUZI BWA RWANDA NE UGANDA: Bannamakkolero balina essuubi
Bannamakolero ga wano bamativu nti ebintu byakwongera okuterera wakati wa Rwanda ne Uganda singa tewabaawo kikyuuka. Daniel Birungi akulira ekibiina ekitaba bannamakolero bano, agamba batandise okubaako ebyamaguzi byawano byebawereza e Rwanda naddala ebizimbisibwa. Wabula Birungi asabye ab'akulembeze ku njuyi zombi bafube okulaba nga banguyako kawefube w'okugonjoola obumulumulu obukyali wakati waabwe kisobozese eby'obusubuzi n'entembula okuddamu okutojjera nga bwe gwaali.