OBUNKENKE E NAKASEKE: 10 babayodde ne ‘drone’ mu kiro ekikeesezza leero
Abatuuze ku kyalo Kalege ekisangibwa mu gombolola y’e Semuto mu district y’e Nakaseke bali ku bunkenke oluvanyuma lw’abantu 10 okuwambibwa ab'ebyokwerinda okuli amagye ne Poliisi mu kilo ekikesezza olwaleero.Kitegeerekese nti Abawambiddwa balina oluganda ku Hajji Abdul Nadduli eyaliko minisita era omuwabuzi wa President ku nsonga za Buganda.Yadde ng'amagye tegannavaayo ku nsonga eno waliwo ebigambibwa nti bano bandiba nga bakwatiddwa ku byekuusa ku bulumbaganyi obwakolwa ku poliiisi ye Busiika gye buvuddeko.