Obulwadde bw’okusannyalala: Ebirowoozo ebingi biyinza okuviirako omuntu okubufuna
Omuwendo gw’abantu abakubwa Stroke oba obulwadde bw’okusannyalala gweyongera okulinnya buli lukya kyokka wakati mu kusoomoozebwa kw’okufuna obujjanjabi bw’obulwadde buno. Buli mwaka, olunaku lwa October 29 lwateekebwawo okuba olunaku lwa Stroke lweyambisibwe okubangulirako abantu ku bulwadde buno, ebibuleeta, engeri gye buyinza okwewalwamu n’engeri y’okubujjanjabamu. Tukuleetedde mboozi ku ngeri okutubira mu birowoozo ebingi oba stress gye kiyinza okukuviirako okukubwa stroke saako n’ebiyinza okukolebwa bw’olaba obubonero bwa stroke.