NANA MWAFRICA: Alojja embeera mw’eyayita oluvannyuma lw’okukwatibwa
Nana Mwafrica nga mulwanirizi wa ddembe lya buntu alojja ennaku gye yayitamu okuva lwe yakwatibwa mu kwekalakaasa okw'okulwanyisa enguzi okwamutuusa n'okuswazibwa olw'okumwoleka obwereere bwe ng'akwatibwa Ennyambala gye yayambalamu nga ate asuubira akanyoolagano n’abebyokwerinda, agamba yagigenderera. Nana amaze ssabbiiti nnamba e Luzira okutuusa lwe yayimbuddwa ku kakalu ku Lwokuna lwa ssabbiiti eno.