MWOGEZE EDDOBOOZI LYAWAMU: Besigye awadde abavuganya gavumenti amagezi
Eyaliko pulezidenti wa FDC Dr. Kiiza Besigye alaze obwennyamivu olw'engeri eggwanga gyeriddukanyizibwamu gyagamba nti eyinza okuviirako banna Uganda okwekyawa. Besigye agambye nti engabana ey'ebyobugagga bw'eggwanga erimu kyekubiira ekiviiriddeko oluwonko okweyongera wakati w'abaavu n'abagagga ng'ebyobugga bw'eggwanga abantu aboolubatu beebabyeyagaliramu. Binno Besigye abyogeredde mu lukiiko lw'abakulembeze mu FDC olwa National Council.