Museveni akalaatidde baminisita okusikiriza bayinvesita
Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni alagidde ba minisita be okukolerera okututumula buto ebyenfuna byeggwa biddeyo nga bwebyali nga ekirwadde kya Covid-19 tekinnabalukawo. Museveni kino akyesigamizze ku kugemesa abantu obukadde 7 omwezi gwa December nga ku bano obukadde 4 bali waggulu wemyaka 50 oba abalina endwadde ez'olukonvuba. Ba minisita bakuutiddwa okwewalira ddala enguzi n'obulyake kubanga ebikolwa bino biotaanya ba musiga nsimbi. Ono abadde aggalawo omusomo gwaba minisita abajja okumaze enaku bbiri.