MU KAMPALA TEMULI EBOLA: Minisita Aceng ayogedde ku by’omulwadde eyafiira e Kirudu
Ministule y'ebyobulamu eriko ab'ebyobuamu bataano abaali bakwatibwa ekirwadde kya ebola beesibudde. Bano ekirwadde kino bakifunira mu ddwaliro e Mubende. Okusiibula abasawo bano kubadde mu ddwaliro e Ntebbe gyebaleeteddwa. Minisita w'ebyobulamu Dr Jane Ruth Aceng asinzidde wano nategeeza nga bwewatanabulakowo kirwadde kya Ebola mu Kampala, wadde nga waliwo omulwadde eyabadde nakyo eyafiiridde mu ddwaliro e Kiruddu. Abantu 42 balina akakwate n'omulwadde ono bamaze dda okwawulwa ku balala nga mubano mulimu n’abebyobulamu. Kitegerekese nti omulwadde ono yava Mubende natuukira e Luweero ew'omusawo w'ekinnansi , embeera bweyamutabukako kwekuddukira mu ddwaliro e Kiruddu gyeyafiira. Kati ku ddwaliro Entebbe wateereddwawo ekifo ewagenda okujjanjabirwa abateeberezebwa okuba n’obulwadde bwa Ebola