MOLLY KATANGA: Okusaba okweyimirirwa kusimbiddwa ekkuuli
Kkooti enkulu mu Kampala etaddewo olwa nga mwenda omwezi guno okusalawo ku kusaba okukoleddwa Molly Katanga nga ono ye Namwandu w’omusuubuzi Henry Katanga ayagala okweyimirirwa. Oludda oluwaabi lulumiriza Molly okubeera emabega w’okutemula bba nga akozesa emmundu ekika kya basitoola.