MMOTOKA Z’EMPAKA: Eza Pearl of Africa zitongozeddwa
Abavuzi b'amotoka z’empaka amakumi Ana mu mwenda bebewandisiiza okwetaba mu mpaka za pearl of Africa Rally ez’omwaka guno ezijjibwako akawuwo ku lw’okutano lwa sabiiti eno mu district y’ebuikwe. Abavuzi okuva mu Uganda, Kenya, Rwanda ne Zambia bebewandisiiza okwetaba mu mpaka zino ez’oluvuga olw’okusatu ku kalenda y’omuzannyo gwa motoka z’empaka mu Africa. Abamu ku bannauganda enkambi bagikubye Kagga mu bitundu bye Nakawuka mu kawefube ow’okwetegekera empaka zino.