LWAKI OMUSAAYI BAGUTUNDA?: Abamu ku bagugaba baagala gav’t egulondoole
Kati abamu ku bantu abagaba omusaayi bagaala gavumenti erondoole amalwaliro okulaba nga tegatunda musaayi eri abalwadde ababa bagwetaaga. Bano betusanze mu bifo awakungaanyizibwa omusaayi batubuulidde nti bbo bawaayo gwabwereere kale nga tewali nsonga lwaki ate amalwaliro agamu gagutunda era nga singa kino tekiikome nabo bandiwalirizibwa okulekeraawo okugaba omusaayi.