Lukwago ayagala ssente z’okukola enguudo ziyambe ku myala mu Kampala
Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago agamba kyetagisa ssente eziri eyo mu bukadde bwa dollar 600 okukola ku nguddo ez’enjawulo n'emyala mu Kampala. Kino kidiridde okuwanjaga okuva eri abatuuze abawangirira e’ Natete olwa mazzi agabanyingirira buli nkuba lwetonya olwemyala emifunda egirina okutambuza amazzi gano.