KIBALAMA AVIIRIDDEMU AWO: Akakiiko k’ebyokulonda kamulagidde agoberere amateeka g’ekibiina
Ab'ekiwayi ekigamba nti kyekutudde ku kibiina kya Nationa Unity Platform nga bakulemberwa Moses Kibalama , osanga byebaliko bakootakoota mu ggalumonde.
Akakiiko k'ebyokulonda gyebabadde bekuubidde enduula kabawadde amagezi okugoberera ssematteka w'eggwanga n’owekibiina , kubanga mu kiseera kino biwa obukulembeze obuliko obwa Robert Kyagulanyi okuddukanya byonna eby’ekibiina so si balala nga bbo.