Kakuyege mu kamyufu ka NRM kutandise, abeesimbyewo balabuddwa ku ffujjo
Akakiiko k’ebyokulonda aka NRM kalabudde bannakibiina okwewala efujjo n'emmundu mu kukuba Kampenyini nga beetegekera akamyufu akasuubirwa okubeerawo omwezi guno.Olwaleero, bano batandise okukuba kakuyege ow'awamu.Mu ngeri y'emu akakiiko kano kekamu katandise okusunsula abegwanyiza ebifo ku lukiiko olufuzi olwa NRM.