KABINEETI YA MUSEVENI: Biki bye yatunuulidde okugironda
Abalondoola ebyobufuzi nabo bakubye ttooki mu lukalala lwa ba minisita pulezidenti Museveni lwe yafulumizza olunaku lw'eggulo. Bano bagamba nti Museveni yalonze abantu baasuubira nti bagenda kumwanguyiza okutuukiriza ebigendererwabye nga omukulembeze w’eggwanga sso ssi nga ekibiina.