Gav’t efulumizza enteekateeka y'omwaka gw’ebyensoma 2020
Ministry y’ebyenjigiriza evuddeyo n’enteekateeka y’ebyensoma eruubirira okulaba nga ebibiina byonna bikomerawo kumu nga 19 Ogwomusanvu okukomekkereze omwaka gw'ebyensoma 2020 olwo ate bitandikire wamu olusoma lwa 2021 nga 20 Ogwomwendaa Wabula ab’ekibiina ekitaba amasomero g’obwannannyini baagala ministry eveeyo n’enteekateeka enaamalawo eby’okuggalawo amasomero nga bw’egaggula mu ngeri y’ekibwatukira.