EYATTA ABAANA BE E MUKONO : Ne mu kkomera yabadde aliko gw’agezaako okutta
Poliisi etegeezezza nti mu kiro ekyakeesa Olwomukaaga oluwedde, omukyala Ruth Constance Nankya eyakkakkana ku baana be babiri n’abatta ku kyalo Kikubankima ekisangibwa mu Ggombolola y’e Nama mu district y’e Mukono ate yabadde akkakkanye ku musibe munne mu kaduukulu gy’abadde akuumirwa n’atandika okumutuga era abasibe abalala be baamutaasizza. Ono yaggyiddwa ku poliisi e Mukono n’atwalibwa mu ddwaliro e Butabika asoke ajjanjabibwe nga poliisi bw’ekyanoonyereza ku musango gw’okutta abaana be babiri.