EYAKWATIBWA KU LWA KAWEESI: Yafa tatwaliddwa mu kkooti, famire ye eyagga
Nnamwandu w’omu ku baakwatibwa nga bateebereza okwenyigira mu kutemula eyali amyuka omuduumizi wa poliisi Andrew Felix Kaweesa alojja ennaku gy’ayitamu. Ono alowooza okufa kwa bba kyava ku kutulugunyizibwa kwe yafuna bwe yali mu kkomera. Ye n’abaana be yasigaza, bayimiriddewo na kulonda bucupa, obuveera n’ebipapula.