Entuula za Palamenti: Sipiika asazizzaamu olubaddeyo leero
Abamu ku babaka ba palamenti si bamativu n’engeri palamenti gy'eyimirizzaamu entuula zaayo olwaleero nga tewali na nsonga ya ssimba ebawereddwa. Ababaka bagamba nti beekanze kiwandiiko okuva mu wofiisi ya Kilaaka nga kiyimiriza olutuula lwa leero n'eza wiiki yonna. Abamu bakisibye ku kwekalakaasa kw'abavubuka abalumiriza palamenti okuba ng'ejjudde abali b'enguzi so nga abalala babuyise butitiizi.