ENTIISA E BUKASA: Famire y’abantu bataano efiiridde mu muliro
Abaana basatu nga omu wa myaka musanvu nga abalala 15 ne 16 bebamu ku bafiiridde mu muliro kumpi ogusanyizzaawo ennyumba mu Yoka Zone e Namuwongo ku njegooyego za Kampala. Bano bafudde wamu nebazadde babwe. Abaana babiri ku bano babadde baakatuula P.7. Poliisi omuliro guno egutadde ku tadooba eyalekeddwa nga eyaka. Enjega eno ebaddewo mu kiro ekikeeseza olwaleero.