ENNEEYISA YA ZAAKE: Abakozi ba palamenti bamulumirizza
Abajulizi abaleeteddwa mu kakiiko ka palamenti akakwasisa empisa , balumirizia omubaka wa munisipaali y'e Mityana Francis Zzaake okweyisa mu ngeri etyoboola ekitibwa kya palamenti. Abalabiseeko okumulumiza ku baddeko akulira eby’obutebenkevu ku palamenti oba Sergeant at Arms, abawandiisi ba palamenti saako abakuuma enziji.Zzaake alumirizibwa okutyoboola palamenti mu November wa 2022 bweyayagala okuwuliriza ebiragiro by'omumyuka wa a sipiika eyamulagira atuule kyoka ye nasigala nga yekandaga era nga ayogera.Munnamatteeka wa Zzaake Erias Lukwago bataddemu okusaba nga baagala amyuka sipiika Thomas Tayebwa naye alabikeko mu kakiiko kano asoyebwe ebibuuzo.