Enkung’aana za NUP: Poliisi ebalabudde, NUP ekalambidde
Poliisi ezzeemu okulabula aba NUP obutetantala kugenda mu mbaaso na nkungaana zaabwe ng'ewera nti ku mulundi guno ssiyakuzikkiriza Ayogerera Poliisi Fred Enanga agamba nti baafunye amawulire okuva mu kitongole kyabwe ebikkessi nga NUP bweteekateeka okulemera ku nkugaana zino esobole okunyoolagana ne Poliisi n'ekigendererwa y'okuttattana ekifanaanyi kyayo n'ekyeggwanga okutwaliza awamu.