ENKUBA EFUDEMBA: Etaataganyizza ab’okumwalo Namirembe e Masaka
Abatuuze abawangaalira ku mwalo gwe Namirembe mu distulikiti ye Masaka basobeddwa oluvannyuma lw’amazzi okusalako ekitundu ky’omwalo guno nga kivudde ku nkuba etonnya obutasalako.Abakulembeze ku mwalo guno kati basaba Gavumenti ebongere ensimbi zeebawa ku kukola enguudo nga kino kiyinza okuyambako okumalawo obuzibu bwa mazzi