ENKAAYANA KU TTAKA: Amagye gayiiriddwa ku ttaka, abatuuze batuula bufo
Waliwo abatuuze mu kibuga Masaka abavuddeyo nebalumiriza amyuka omubaka wa Uganda mu ggwanga lya German Danny Ssozi Mayanja okubagobaganya ku takka lyebalinako obwannanyini. Ettaka eryogerwako liweza yiika 15 nga kuliko amaka g’abantu abasoba mu kkumi nga ku ssaawa eno waliwo magye gegakuuma awo nga galemesezza abatuuze abasula ku ttaka lino okutuuka mu maka gaabwe.