EMPAKA ZA UGANDA CUP: Gadafi 5:3 Heroes
Mu mpaka za Uganda Cup, Gaddafi ewangudde Heroes goolo taano ku ssatu- ogwa bano gugweredde mu penati bwe basoose okugwa amaliri nga tewali ateebye munne. Bboma e Masindi ewangudde Nyamityobola goolo nnya ku emu. Ate Bundi-Masooli ababadde bakyazizza ttiimu ya BUL Fc tebalabiseeko olwo Bul FC n’efuna obubonero busatu obw’oku mukeeka.