EMISOLO GY’OKUVUBA: Abavubi e Namayingo beekubidde enduulu, embeera ebayinze
Abatuuze ku bizinga bye Namayingo nga okusingira ddala bano bavubi bakalambidde ku nsonga y'okusasula emisolo egyibabangibwa minisitule y'obulimi n'obulunzi. Bano bagamba nti bamaze ebbanga nga tebavuba olwembeera ya covid n'olwekyo ensimbi z'omusolo eziri eyo mu silingi 450,000 nga zikubisiddwamu emyaka essatu tebazirina. Wabula abakulu okuva mu minisitule y'ebyobulimi n'obulunzi egamba nti eno eyinza okuba nga nsonga yakwekwasa okubuuka emisolo gino nga era ekyo tekibayigula ttama.