EMISANGO GY’OBULIISAMAANYI: Ekitongole ekiramuzi kitandika okugiwulira omwezi guno
Ekitongole eky'essiga eddamuzi kigenda kutandika okuwulira emisango gy’obulisa maanyi mu disitulikiti 13 eza Uganda omwezi guno.Akulira abalamuzi mu ggwanga Flavian Zeija atubulidde nti baagala kukendeeza misango emingi egiva kubutabanguko mu makka negyobulisa maanyi kubanga egyeyongera ennyo naddala mu kiseera ky'omuggalo. Ono leero asisinkanye abalamuzi ba Kkooti enkulu n'ezisookerwako abagenda okuwulira emisango gino.