EMISANGO GY’EBIJAMBIYA: Ssegirinya ne Ssewanyana babataddeko ogw’obutujju
Ababaka Muhammad Ssegirinnya ne Allan Ssewanyana abaakwatibwa ku byekuusa ku ttemu mu bitundu by'e Masaka ebintu byongedde okubakalubira kubanga omuwaabi wa gav't abongeddeko emisango emirala ebiri okuli ogw'obutujju n'okuwagira ebikolwa eby'obutujju. Ssegirinya ne Ssewanyana baasooka kuvunanaibwa emisango ena - okuli egy'obutemu esatu n'omulala ogw'okugezaako okutta. Olwaleero, mu kkooti e Masaka ababaka ababiri n'abantu abalala bwe bavunaanibwa balabikiddeyo basinziira ku nkola ya yintaneeti okuva mu kkomera e Kigo n'e Kitalya.