EMIKOLO EGIMALAKO TAAMU: Amasomero agamu gayiiyizza obutaviiramu awo
Oluvannyuma lwa Gavumenti okulagira abayizi okuwummula nga taamu tenatuuka , ebintu bingi ebyalina okukolebwa abayizi omuli speech day , okutikkirwa n’ebintu ebirala, amasomero gesanze nga galina okubivaako. Wabula enswa bwekyusa amaaso nga naawe okyusa envubo era nga waliwo amasomero agataddewo enkola endala okulaba nga abayizi n'abazadde tebafiirwa bimu ku bintu bino ebibadde bifuuse ekitundu ku masomero ng’omwaka guggwako.