Ekkanisa etenderezza omulimu Ssaabasajja gwakoze mukutumbula embeera z’abantu be
Ekkanisa etenderezza omulimu Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II gwakoze mukutumbula embeera z’abantu be. Bano bategezeza ng’Ebyenjgiriza, n'ebyobulamu bwe bisosowaziddwa ennyo ng'omutanda alamula obuganda Bino, bibadde ku kusaba lutikko e Namirembe mu kusaba Kw’okwebaza Omutonzi olw’emyaka 32 Omuteregga gyamaze ngali ku nnamulondo ya bajajja be.