Ebya Ndawula ssi birungi, waliwo ayagala NRM esazeemu eby’okusunsulwa kwe
Waliwo omuwagizi wa NRM e Luwero awandikidde akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kye nga akasaba okusazaamu omu ku basunsuddwa okuvuganya ku kaadi ya NRM ku kifo ky’omubaka wa Katikamu North.Joseph Kiyinji Ssentumbwe alumiriza Ronald Ndawula nti yalangirirwa ku lubu lwabanakunkunyedda nga nolwekyo tasaanidde kuvuganya ku kifo kyonna kya byabufuzi okutuusa nga kooti ekimenyewo.Wabula Ndawula ebimwogerwako abiyise kisala budde, era entalo z’ebyobufuzi zazze alwanagana nazo entakera.