EBINTU EBYABBIBWA E MUKONO: Poliisi n’amagye baliko bye bazudde
Poliisi e Mukono eriko ebintu ebyenjawulo ebizze bibbibwa ku bantu byeraze mu lujudde ku poliisi y'e Mukono.
Kino kidiridde ekikwekweto ekyakolebwa poliisi n'amagye mu bitundu ebyenjawulo oluvannyuma lw'abatuuze okuloopa emisango gyo bubbi n'obunyazi. Mubiragiddwa mubaddemu Tv. amasimu. fridge ne birala. Kati buli eyabbibwako ekintu ayitiddwa okuja ku poliisi ne lisiiti ekakasa obwananyini.