Bannaddiini bambalidde gav’t ku ky’okulinyirira eddembe lya bannamawulire
Mu bitundu by’eggwanga ebirala nayo ebaddeyo okusabira bannamawulire ng'awamu bannadiini tebabadde na bigambo biwooma eri bakulu mu gavumenti, be balumiriza okuviirako omulimu gwa bannamawulire okuggwamu ensa. Bannadiini bano baagala gavumenti y'ekube mu mutima ekuume eddembe lyabano basobole okukola ogwabwe awatali kubakuba ku mukono.