Bamuturaki talabiseeko, akakiiko ka COSASE kamuwadde nsalesale
Akulira kampuni y’ennyonyi y’eggwanga eya Uganda Airlines Jeniffer Bamuturaki leero talabiseeko mu kakiiko akalondoola enkola y’ebitongole bya Gavumenti ka COSASE ekiggye ababaka abatuula ku kakiiko mu mbeera. Kati bano bamulaalise nti ayolekedde okukwatibwa ssinga kamutanda n’atalabikako mu kakiiko kano olunaku lw'enkya. Bamuturaki akiikiriddwa Micheal Kaliisa ng'ono yavunaanyizibwa ku by'omutindo mu kkampuni Ya Uganda Airlines.