BAJETI: URA etuuse obutaweza musolo
Waliwo okutya nti gavumenti yandiremererwa okukungaanya omusolo oguli eyo mu mitwalo ebiri mu lukumi mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja olw’ekirwadde ki COVID-19. Ab’ekitongole ekigatta bizineesi entonotono kiyite Federation of Small Medium Entreprises balowooza nti kijja kuba kizibu bizineesi ezenjawulo okuvaamu omusolo gavumenti gweyetaaga kubanga nnyingi ku zino zongedde okunyigirizibwa olw’omuggalo ogwekiseera gavumenti gwe yalangiridde.