Apollo Nyangasi awakanya eky’okumusiba emyaka 25
Eyaliko Ssentebe w’ekibiina ekitaba abasawo ekya Uganda Medical Workers Union, Nyangasi Dalton Appolo alabiseko mu kkooti ensukkulumu , gyatutte okwemulugunya nga awakanya ekibonerezo kyeyakaligibwa ekyokusibwa emyaka 25. Ekibonerezo kino kyamuweebwa kkooti ejjulirwamu oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gw’okutta mukyalawe Christine Dambio Nyangasi olw’obutakaanya bwebafuna mu maka. Mu kusooka kkooti enkulu ono yali emusibye mayisa , kyoka kkooti ejjulirwamu nemuddiramu okumusiba emyaka 25, wabula nga agamba nti gino nagyo mingi nnyo. Nyangasi yatugira mukyalawe mu kabuyono nga 24th/July/2010 mu makaagabwe agasangibwa mu kireka B Zone mu disitulikiti ye Wakiso. Entabwe yava ku byabugagga byebalaina , saako ekya Nyangasi okuleeta omwana ow’emyaka 14 mu maka gweyali azadde ebbali.