AMAZINA GA BWOLA: Abagazina boogedde nti gakola mu nnaku ne mu ssanyu
Mukwaniriza omubiri gw'omugenzi Jacob Oulanyah ku Kisaawe e Ntebe ku lwokutaano lwa wiiki eno waliwo abazinyi abalabiddwako nga nabo baaniriza omufu mu ngeri eyenjawulo. Mu buwangwa bwabacholi okuzinira ku mufu kintu kyabulijo era kitiibwa ekiwebwa abantu abalina kyebakoledde ebitundu mwe bava abalowoozebwa nti sibangu kuzzikawo. Amazina gano gayitibwa Bwola.Jingo Francis ayogeddeko n'abazinyi bano okumaya ensibuko y'amazina gano